Martin Muganzi

Luganda Radio Podcast

Arts EN ↓ 106 episodes

Luganda Radio Podcast is a station dedicated to the popularization and promotion of Luganda language in the diaspora. The presenter reads famous Luganda books and folktales for listeners to enjoy, reflect and learn about Luganda and the rich culture of the Baganda people.

Author

Martin Muganzi

Category

Arts

Podcast website

rss.com

Latest episode

Sep 6, 2024

Where to listen?

Podcasts in the app Replaio Radio Coming soon

Podcasts are coming to the app soon. Install now and be the first to see a whole new take on podcasts

Get it on Google Play Install for free Android almost 10M downloads · 4.8 rating iOS soon

Episodes

Nkyalira Walumbe Ettanda EP01: Walumbe Ampita 28.09.2023

Tutandikira eyo kulumbe nga waliwo omwami alimu nnaku enyingi era nga asigadde bwomu mukayumba. Eyo mukiro afuna omugenyi ntumwa amutegeeza nti yetaagibwa ewa Walumbe Ettanda.

Nkyalira Walumbe Ettanda: Entandikwa 24.09.2023

Nkyalira Walumbe Ettanda katuwandikirwa J.S Kaddu era atunyumiza engeri gyeyagenda Ettanda nasisinkana Walumbe. Kano katabo kantiisa era kajjudde ebyokoola nebyewunyo.

Bazibumbira EP08: Bazibumbira Agenda Mu Ssomero Part 3 22.09.2023

Akatundu akamaliriza omutwe guno katulaga essomero nebibonerezo ebyenjawulo Bazimbumbira byafuna era tweyongera okulaba abavubuka naddala abakulu engeri gyebeyisaamu. Tulaba obunanyizibwa mpozi nobukulembeze obwetondese mu Zinunula era tuyiga nti wakati mukusoomozebwa, asoma namalako emisomo gye.

Bazibumbira EP07: Bazibumbira Agenda Mu Ssomero Part 2 21.09.2023

Mu katundu kano tulaba ebifa mumaka ga Ssebirikundi era ekisulo abalenzi abaali basomera ku ssomero lye mwebabeera n'embeera gyeyali abayisaamu.

Bazibumbira EP06: Bazibumbira Agenda Mu Ssomero Part 1 08.09.2023

Bazibumbira afuna omukisa okuviira Dina bwategeera amawulire nti wakugenda ne Ssebirikundi asomere eyo mu ssomero lye. Wabula byasangayo eyo nabyo ssibyangu kubanga agavubuka agakulu kotadde abasomesa nabo bamuliisa akakanja.

Bazibumbira EP05: Bazibumbira Avumbamu 30.08.2023

Bazibumbira nga amaze okuviibwako nnyina yatandika okuliisibwa akakanja Maama we Ddina. Era yadde kitaawe yali agambye Ddina obutakubanga mwana Bazibumbira, Ddina yafuna engeri nyingi nnyo ezokubonyabonyamu omwana oyo.

Bazibumbira EP04: Bazibumbira Afuuka Mulekwa Part 2 23.08.2023

Mukitundu kino ekyokubiri tulaba ebyaaliwo nga Susaana atuuse gyebamuzaala, Kawoonawo gyeyamwesooka. Tulaba kooti yekyaalo nga esala omusango era nga Susaana addayo mumaka gyeyazaayira, Bazibumbira nafuuka mulekwa.

Bazibumbira EP03: Bazibumbira Afuuka Mulekwa Part 1 17.08.2023

Nga tutandika essuula eno tulaba Kaawonawo nga awasa Dina era amuleeta awaka munnyumba yeemu omuli mukyala we Susaana. Tulaba nekiro ekizibu omusota lweguluma Dina neyekwasa Susaana okumuloga.

Bazibumbira EP02: Bazibumbira Afuna Nnyina Omuto Part 2 09.08.2023

Omuwandiisi ayongera okutubuulira ebikwata ku Kaawonawo n'engeri gyatambuzaamu obulamu bwe. Atulaga engeri obuseveni gy'ebwamufuula owetutumu era atunyumiza engeri gyeyafunamu Dina.

Bazibumbira EP01: Bazibumbira Afuna Nnyina Omuto Part 1 02.08.2023

Omwandiisi Cranmer Kalinda aggulawo olutimbe lwa Bazibumbira nga atulaga ekyaalo amakula Wabinoga. Tatulwisaayo nga atubuulira ebitonotono ebikwata ku Kaawonawo wamu nemutabani we Bazibumbira.

Bazibumbira: Ebikwata Ku Muwandiisi Cranmer Kalinda 21.07.2023

Crannmer Kalinda eyatuwandiikira Bazibumbira nengero endala nnyingi muyivu eyakuguka mu literature, nga yasomera mumawanga mangi era naweereza ne nsi ye Uganda wamu ne Buganda mu kusomesa olulimi oluzungu ate n'oluganda.

Zinunula Omunaku EP20: Pyati Ampa Mirembe Mmuwase Ng'akasiimo 21.07.2023

Olugero omuwandiisi alumaliriza nga akwaasa Zinunula omumbejja we era ba wantugga bonna basanyukira ekyo Pyati kyakoze. Zinunula yadde afunye omukazi owebirooto bye, abalabe bbo kirabika tebanagwayo.

Zinunula Omunaku EP19: Mbego Mmufumita n'ava mu budde 21.07.2023

Oluvannyuma lwensitaano ereka Zinunula nga omutwe gwetoloola olwebisago ebingi byeyafuna, anoonya amaanyi agasembayo oba agomubuto nga Mbego akooyedde ddala, namukasukira effumu eriyita mu ngabo nerikwata Mbego ppaka wansi be-ddu.

Zinunula Omunaku EP18: Nenejjusa Obutafumita Kutta Mbego 21.07.2023

Mbego ne Zinunula bubeefuka mulutabaalo olwokufa nokuwona. Zinunula tasuubira nti anaasobola okuwangula Mbego, nabawagizi be abamu balaba apondoose era aweddemu amaanyi agawangula.

Zinunula Omunaku EP17: Omwana w'oMwami Ampagira Abatemu Kyokka Ne Battamu Ye 21.07.2023

Zinunula ayongera okusimattuka omupango omwana w'omwami gweyali amuteze kuttale gy'ebayiggira, amuttire eyo.

Zinunula Omunaku EP16: Mirembe Antegeeza Omwami bw'amwagaliza Mutabani We 21.07.2023

Nga omukwano gwa Zinunula ne Mirembe gutandise okutojjera, Mirembe ategeeza Zinunula ebimukwatako ewaabwe nebintu ebizibu ebiynza okumutuukako olw'omukwano oguliwo wakati wabwe.

Zinunula Omunaku EP15: Mirembe Antonera Ebimuli 21.07.2023

Omukwano nga gubasaza mu kati, Mirembe ne Zinunula batandika okuzanya obuzannyo, nga kwogasse nokwetonera ebimuli. Naye kwolwo, waliwo omugenyi atazunza njuki eyabagwako, awo obudde nebudda kubunaabwo.

Zinunula Omunaku EP14: Tutta Omukago Ne Mirembe 21.07.2023

Mirembe eyali akooye okwekuba ku Zinunula Omunaku kyokka ye nga tamulaga oba amwagala, amusaba akole ekintu ekitali kyangu nnyo okumulaga nto amawagala. Amusaba batte omukago.

Zinunula Omunaku EP13: Abampembe Bannumba Ekiro Bammize Omusu 21.07.2023

Essuula eno y'antiisa nnyo kubanga omuwandiisi atusuula mumbeera eyekikangabwa. Zinunula ne mikwano gye balumbimbwa abampembe ba Sololo. Entalo zonna ziva kubeera nti Zinunula yagwa mu mukwano ne Mirembe. Zinunula luno analusukka leero?

Zinunula Omunaku EP12: Natta Embogo Eyali Eremye Abangi 21.07.2023

Ebizibu bya #Zinunula tebikoma, bweyamala okuva mu kibira, mu ssula eno atulaga nti waaliwo embogo eyali etaamye obugo awo kukyaalo era Zinunula yali alina okubaako kyakolawo okuyamba abo beyali etawanya.

Zinunula Omunaku EP11: Mbulira Mu Kibira Nne Nnwana N'essota 21.07.2023

Mu ssuula eno, Zinunula atunyumiza engeri gyeyabulira mu kibira bweyali agenze okusennya enku mu kibira nabawala b'okumulirwano namaliriza nga afuniddeyo ebizibu.

Zinunula Omunaku EP10: Nfuuka Mukwano Gwa Muyodi N'entalo Za Pyati 21.07.2023

Zinunula ali mu kattu wakati wakati wokukolera Pyati ate nokuwulira nti muwala wa Pyati Mirembe amwegwanyiza. Zinunula alina okwetegekera ebigenda okuddako.

Zinunula Omunaku SEP9: Ettutumu Ly'okutta Empologoma Litutuusa Embuga 21.07.2023

Eno Essuula eraga Zinunula nga akomyeewo kubwabobwe era nga ayaniriziddwa nga omuzira. Wuliriza olabe bweyagenda ewa Kabaka abitebye ebyaali eyo gyebattira empologoma.

Zinunula Omunaku EP8: Mpona Okwokebwa Mu Nju N'empologoma 21.07.2023

Mu suula eno empologoma zikyeriisa bugo era waliwo eyabalumba gyebaali basuze. Wuliriza olabe obuvumu Mikolo bweyakozesa n'ebannakyaalo okutaasa Zinunula.

Zinunula Omunaku EP7: Zinunula Ne Mikolo Batta Empologoma 21.07.2023

Mu suula eno eyomusanvu, omuwandiisi atunyumiza abazira Zinunula ne Mikolo bwebalumba empologoma eyali ekaabya abanakyaalo akagigi nebagimiza omusu.

Listen to the Luganda Radio Podcast podcast in Replaio

Radio and podcasts in one app - free, with no sign-up. Install today and do not miss the launch

Get it on Google Play

Replaio is not a podcast publisher; show names, artwork and audio belong to their authors and are distributed through public RSS feeds.