Martin Muganzi
Luganda Radio Podcast
Luganda Radio Podcast is a station dedicated to the popularization and promotion of Luganda language in the diaspora. The presenter reads famous Luganda books and folktales for listeners to enjoy, reflect and learn about Luganda and the rich culture of the Baganda people.
Où écouter ?
Les podcasts dans l'appli Replaio Radio Bientôt disponibleLes podcasts arrivent très bientôt dans l'appli. Installe-la dès maintenant et découvre en avant-première une toute nouvelle façon de vivre les podcasts
Épisodes
Bazibumbira Bonus EP20 Ennyinyonnyola y'Ebigambo Ebimu Ebizibu 26.02.2024 9:36
Bino byebimu kubigambo ebizibu ebirabikira mu katabo Bazibumbira n'ennyinyonnyola yaabyo.
Bazibumbira EP19 Bazibumbira bwe Yagenda Okwanjulwa Teyadda Part 2 24.02.2024 21:48
Bazibumbira ka tikiti keyagula ekisaazi kekaawangula ssente empitirivu. Naye abantu kyebabeeredde e'mpiri, Kaawonawo ne Ddina bebasooka okumuwandiikira nga bamulagira abawe ku ssente ezimu ku zeyali afunye.
Bazibumbira EP18 Bazibumbira bwe Yagenda Okwanjulwa Teyadda Part 1 22.02.2024 21:37
Bazibumbira yefunira Nakitto era yagenda naky'aala naye bweyakomawo okwetegeka okugenda okunona omugole, embeera yakyankalana era teyasobola kuddayo.
Bazibumbira EP17 Okubonaabona Si Kuffa 20.02.2024 20:42
Nga amaze okutuuka ewa Kojja we, Bazibumbira yasobola okufuna omulimu ku kibuga naye era tewaabulayo birumira.
Bazibumbira EP16 Atamuzadde Amutikka Jjinja 15.02.2024 23:19
Bwonyigiriza ennyo enyindo, ogireeta omusaayi. Ddina yaliisa nnyo Bazimbumbira akakanja akaamuleetera nokumuviira mu lusambaggere.
Bazibumbira EP15 Amandaazi Gamuzaalira Leenya Part2 13.02.2024 9:08
Amandaazi Bazibumbira geyalya ne mukwano ggwe Pikipiki gaamuletera n'okubejjagala naye okumaliriza nga ebyensasula bibasudde mumatigga, Pikipiki yekebera buli wamu naye ssente nga taziraba.
Bazibumbira EP14 Amandaazi Gamuzaalira Leenya Part1 09.02.2024 23:37
Essanyu lyokugenda mu kulambula kwasuza Bazibumbira akukunadde, era webwakerera nga yetegese okugenda alabe ebifa mu kibuga, Kyataamanya nti ayinza okugwa mubuzibu olw'amandaazi.
Bazibumbira EP13 Eteefe Etuusa Mugenyi 26.01.2024 12:24
Nga amaze okusimattuka ekkomera era nga omusomesa we asobodde okumatiza Kaawonawo amuzze mu ssomero, Bazibumbira atandika obulamu obupya ku pulayiveeti gy'ebamutwaala.
Bazibumbira Episode 12: Omusango: Okubonaabona Si Kufa Part2 24.01.2024 25:33
Ate Bazibumbira waayita mmeka nga kaddulubaale tamusudde mu ntata?, Wuuyo mu nkomyo abasibe n'abaserikale bamuzeeko bamulambuzza ekkomera. Naye era olukisakisa luno lwayamba, musomesa we namusobozesa okufuluma entaana y'okunsi.
Bazibumbira EP11: Omusango: Okubonaabona Si Kufa Part1 23.01.2024 19:20
Mu kitundu kino tulaba Bazibumbira nga agudde mu buzibu obw'amaanyi n'abakyaala b'omukulu. Anti bagamba enjovu weziranira, obusubi bwebubonaabona.
Nkyalira Walumbe EP14: Tutuuka mu Maaso Ga Walumbe 09.01.2024 17:16
Nga bavudde mu gguudo eddene. Batuuka ewa Walumbe.
Nkyalira Walumbe EP13: Tugwa Mu Gguudo Gaggadde 07.01.2024 7:19
Erigga n'ekisodde nga bamaze okubiwona ate besolossa mu gguudo eddene era nga tebalaba gyerikoma.
Nkyalira Walumbe EP12: Erigga Gaggadde 05.01.2024 12:15
Ate okutuuka ku liri erigga eryakula nga basobola okulisala? Bagezaako okuyita ku biyinja ebyaali bitindiddwa naye mwana muwala neyesolossa mu mazzi kata entamu agivuunike.
Nkyalira Walumbe Ettanda EP11: Ekizinga Amakula n'Amajankunene Gaakwo 03.01.2024 14:28
Bannaffe essanyu ly'ajula okubatta nga batuuse kukizinga okujjudde ebibala ebiwooma okufa, ate nga tekuli bibatawanya. Era basuubira nti banaasisirako awo akabanga naye nno waaliwo Amajankunene Gaakwo agaali gateetaagako bagenyi.
Nkyalira Walumbe Ettanda EP10: Ekiro Eky'Entiisa 22.12.2023 7:49
Nga bamaze okulengera olukalu basuubira nti binaaba byangu, naye nga bwebagamba nti obwato bufa magoba, misana okufuuka kazigizigi n'ekibuyaga gyebyaava ku nnyanja eyali eradde tewali yamanyaayo. Otemya nokuzibula nga eryaato lyafuuse dda kyaato.
Nkyalira Walumbe Ettanda EP09: Namuziika Mu Nnyanja 20.12.2023 13:02
Eryaato lyabataasa naye okugenda okwejukiriza nga omu kubo bwazibya tasula. Era terwaala nga abasibula. Wakati kuguyanja gaggadde, tebaalina kyakukola kirala kyonna okujjako okumuziikira ddala okwo kuguyanja.
Nkyalira Walumbe Ettanda EP08: Emberebezi Ku Lubalama Lw'Ennyanja 18.12.2023 19:48
Awo kulubalama webaali bakubye olusiisira tezaalwa nesituusa agasajja agalabe n'egalwaana nabo era okugenda okwengendereza nga abasinga balusuddemu akaba nga kwotadde n'eyali omukulu wabwe eyali amanyi ennyo gyebaali balaga.
Nkyalira Walumbe Ettanda EP07: Nzirikako 16.12.2023 19:01
Enjala yali ekulumyeko okubula okukutta? Munnaffe enjala yamuzirisa era tebaba bazirakisa abatuuka n'emmere eyali egaze nokugaga, yali tadda ngulu.
Nkyalira Walumbe Ettanda EP06: Tusiyagguka Eggendo Ssinziggu 14.12.2023 14:33
Lugendo ki oluwanvu lw'ewali obaddeko nga negyolaga tomanyiiyo? Omuwandiisi atulaga eggendo eritali lyangu omwami lyeyesaamu nga atolose ewa Lukuusi.
Nkyalira Walumbe Ettanda EP05: Mponera Watono 12.12.2023 8:28
Tuddayo mu lubiri lwa Lukuusi omuwandiisi natulaga engeri abajaasi bwebesuulamu akambayaaya nebataamira Lukuusi olwo buli omu nabuna emiwabo era nga amagezi agaali gasinga kw'aali kubomba.
Nkyalira Walumbe Ettanda EP04: Ntuusibwa Ewomutaka Lukuusi 10.12.2023 13:13
Ewa Lukuusi, ggwe ow'emeeme entono tosobolayo. Anti oli omwami abonyaabonya buli amuliranye era ewuwe wajjudde biwoobe n'amiranga. Bwotukaayo otandikira kubibonerezo era omalira mu kaduukulu.
Nkyalira Walumbe Ettanda EP03: Mu Kaalo Ntaana 07.12.2023 8:14
Akaalo Ntaana kalimu bingi omuwandiisi byatulaga okuviira ddala mu lumbe abalya mmere gyebakubira emiranga n'ebirabo byebawa omugenzi omuli okumusumika embugo. Omuwandiisi era atulaga emikolo emikulu egikolebwa mukuziika.
Nkyalira Walumbe Ettanda EP02: Ntandika Olugendo Ssinziggu 06.12.2023 7:13
Olugendo lw'okuzaawa olutegeera? Omuwandiisi muntiisa enyingi atutwaala ku saawa y'omusanvu natulaga eddakiika ezisembayo nga entamu evuunikwa okwolekera enviiri gyezittira nga omuddo.
Bazibumbira EP10: Bazibumbira Azza Ogwa Nnaggomola Part2 10.10.2023 10:33
Bazibumbira akabaluwa keyafuna okuva ewa Nalumansi kamusuula mu ntata. Essomero lyonna litabuka lwakulowooza nti Bazibumbira yali ayize empisa yokukwana abawala.
Bazibumbira EP09: Bazibumbira Azza Ogwa Nnaggomola Part 1 05.10.2023 11:10
Omuwandiisi atutwala mu ssomero eppya Bazibumbira mwagenda okusomera era atunyumiza obukambwe obuli mubasomesa era mpozi nokulekayo okusoma ebyo ebyaffe wabula ate okuyiga ebyomunsi zebweeru.
Podcasts similaires
Replaio n'est pas éditeur de podcasts ; les noms des émissions, les visuels et l'audio appartiennent à leurs auteurs et sont diffusés via des flux RSS publics